Ani Yafunye mu Nsisinkano ya Pulezidenti n'Abasuubuzi ? Tosubwa Abakugu nga Bawa Endowooza zabwe ku Kibuuzo kino Olunaku lw'Enkya Pulogulaamu
#AmaasoKuGgwanga
n'Omukubiriza
@StevenBusuulwa
butereevu ku
@bbstvug
ku Ssaawa 2 ez'Ekiro.
Mutabani wa Pulezidenti wa
@NUP_Ug
, Robert Kyagulanyi Ssentamu
@HEBobiwine
, Solomon Kampala awanise bbendera ya Uganda bwagiwangulidde omudaali ogw'ekikomo ( Bronze) mu misinde gya mmita 200 mu mpaka za Ultimate Race Nights ezibadde ziyindira mu kibuga Dubai.
#BBSKATI
Kitalo! Omuyimbi Mbaziira Deo abadde amanyiddwa ennyo nga Baby Deo Star eyayatiikirira ennyo olw'oluyimba "Kawanga" afiiridde mu kabenje mu bitundu bye Kyengera. Poliisi omulambo gwe egututte mu ggwanika e Mulago ng'okunoonyereza bwekugenda mu maaso. Ebisingawo tubireeta mu…
Akulira
@NUP_Ug
, Robert Kyagulanyi Ssentamu (
@HEBobiwine
) abuuza Brig Gen. Felix Kulaigye n'amagye, lwaki tannakwatibwa n'okutuusa essaawa ya leero nga ate balina omujulizi Eric Mwesigwa alina obukakafu nti ye Kyagulanyi n'ekibiina kye balina 'Drone' eziwamba abantu…
Omuyimbi Shafic Walukagga aka Fic
@FFameica
asabye abawagizi be abamubuuza oba Bobi Wine anaalabikako mu kivvulu kye nga bwekyali omulundi oguwedde nti basaanye bakimanye nti
@HEBobiwine
alina emirimu mingi gy’aliko obudde buno ate nga gya mugaso nnyo eri eggwanga nga n’olwekyo…
Omugagga Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham atutte Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi mu kkooti enkulu ekola ku by'ettaka nga agamba nti ettaka lye Kigo lyabadde akaayinira akabanga akayise lirye bwoya.
KITALO! Omuwagizi wa ttiimu ya
@ManUtd
Ssesanga Ivan agambibwa okuba nti yatondose naagwa naafa bweyabadde mu kibanda e Wakaliga nga alaba omupiira
@LFC
mweyakubidde
@ManUtd
ggoolo 7-0 .Ebirala ku ggulire lino tubireeta mu
#BBSGambuuze
#BBSKATI
Omukuumi wa kampuni ya SGA ku ssundiro ly’ amafuta erya Stabex erisangibwa e Garuga, Onwang Nixon, akubye omukozi wa Umeme, Buwembo Henry abadde ku Pikipiki essasi nerimuyitamu nerikwata omutunzi w’obumonde Patrick Mukooza.
Kampuni ya Google erangiridde nga Oluganda bweruli olumu ku nnimi 24 ezayungiddwa ku kibanja kino ku Ssemazinga Africa, nga kati zisobola okukyuusibwa n’okuvuunulwa okuva mu nnimi endala. Eyakuliddemu kaweefube ono, Isaac Caswell agamba kino bakikoze okugaziya empeereza yabwe.
Ekitundu ky'oluguudo Munnakibiina ki Forum for Democratic Change -
@FDCOfficial1
Rtd. Col. Dr.
@kizzabesigye1
weyasimbye ebitooke e Kasangati olunaku lw'eggulo kitandise okuddaabirizibwa olwaleero.
#BBSKATI
Poliisi etandise omuyiggo ku musajja eyakoze akatambi akasaasanidde omutimbagano nga yewaana nga bweyatta omugenzi Isma Olaxes. Mu katambi kano omusajja ono agamba nti okutta Isma waliwo eyamutuma kyokka n’agaana okumusasula kwekusalawo okuddukira ku mutimbagano.
Omwogezi wa…
Agava ku Freedom City mu kivvulu kya
@AlienSkinUg
galaga nti emiryango gigaddwa nga tebakyakiriza muntu ayingira yenna olw’obungi bw’abantu. 📷📷
@DevoshM
Kitalo! Omugagga Hajji Magoba Nnannyini Magoba Arcade mu kibuga Kampala afudde. Ono afudde enkya yaleero nga kigambibwa nti agudde mu kinaabiro.
#BBSKATI
Omuyimbi musaayi muto, Felista di superstar afunye obubonero 13 mu bigezo bya PLE ebifulumye olwaleero. Ono kati yesuunga siniya. Ebirala tubireeta mu
#BBSKawunyemu360
#KuMulamwa
: Bubaka ki bw’owa ababaka Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana abateereddwa olwaleero ku kakalu ka kkooti ?
Endowooza yo egenda kusomwa butereevu mu mawulire
#BBSGambuuze
ku ssaawa emu ez'akawungeezi
#BBSKATI
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi asiimye nalabikako ku biici ya Imperial Resort Entebbe era Balaam y'omu ku bafunye omukisa okumubuuzaako.
#KabakaBirthdayRun2023
Wabaddewo akasattiro mu bitundu bye Mpigi mu kuziika Jjajja w’omu ku bakola ku by’okwerinda bya Pulezidenti wa
@NUP_Ug
, amanyiddwa nga Eddie Mutwe omusajja bwagezezaako okutuuka ewabadde watudde
@HEBobiwine
ng’akutte emmundu entono (basitoola) wabula abakola ku by’okwerinda bya…
Bannakibiina ki
@NUP_Ug
nga bakulembeddwamu omukulembeze w’ekibiina kino
@HEBobiwine
batalaaze enguudo za Kampala mu kiro ekikeesezza olwaleero ne badduukirira abaana abawangaalira ku nguudo n’ebyokulya bayite mu lunaku olubadde lusooka mu mwaka obulungi
Bano basabye…
Pulezidenti wa
@NUP_Ug
, Robert Kyagulanyi Ssentamu (
@HEBobiwine
) kyaddaaki azzeeyo mu maka ge agasangibwa e Magere mu disitulikiti ye Wakiso oluvannyuma lw’akaseera nga yagadduka. Ono akedde kuddayo amakya galeero oluvannyuma lw’okukitegeera nti ab’ebyokwerinda ababadde…
Ssaabasajja Kabaka gyebuvuddeko yasiimye n’alabikako eri Obuganda. Omutanda yabadde mu biseera bye eby' eddembe ku lubalama lwe nnyanja Nalubaale e Ntebe mu bimuli bya Botanical. Yasiimye neyeekubisaamu ekifaananyi (Selfie) ne Dj Bedan.
#BBSKATI
Omuyivu Dr. Jimmy Spire Ssentongo agamba olutandika n’olunaku lw’enkya ku Mmande nga 22, May, 2023 wajja kubaawo omwoleso ogukwata ku Uganda Police gwayise
#UgandPoliceExhibition
.
Poliisi eremesezza enteekateeka y'okugezesa ennyonyi eyakoleddwa musaayi muto, Lubega Maluwa omutuuze ku kyalo Ttamu mu disitulikiti ye Mityana.
Ono yabadde wakujambusa mu bwengula olunaku lw'eggulo okugezesa amaanyi gaayo era okusinziira ku amyuka omubaka wa pulezidenti e…
Bazzukulu ba Kayiira, Robert Kyagulanyi Ssentamu (
@HEBobiwine
) ne muto we Michael Mukwaya (Mikie Wine) batuuse mu kisaawe e Wankulukuku okuwagira ekika kyabwe mu mpaka ez'akamalirizo.
#BikaFinal2023
#BBSKATI
Omumyuka asooka owa Ssaabaminisita wa Uganda,
@RebeccaKadagaUG
yanekedde dda mu busuuti ku lutikko e Bugembe ku mukolo gw'okugatta Mwenemu ne Inebantu Mutesi Jovia.
#BusogaRoyalWedding
Eyali omubaka wa Jinja East mu
@Parliament_Ug
, Hon. Paul Mwiru mu butongole yegasse ku kibiina ki
@NUP_Ug
. Ono ayaniriziddwa Pulezidenti w'ekibiina ekyo Kyagulanyi Ssentamu (
@HEBobiwine
) olwaleero e Jinja, Mwiru abadde mu kibiina ki
@TheAllianceUG
ekikulemberwa Maj.…